Skip to content Skip to footer

Basatu bafiiridde mu kabenje

ACCIDENT SCENE 3

Abantu basatu bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.

Abafudde kuliko Asiati Nabukenya n’abaana be babiri okubadde ne bebi w’emyezi 3

Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kyabogo e Kingo mu disitulikiti ye Lwengo.

Emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo No.UAS 307R ebadde e Mbarara y’eremeredde omugoba waayo n’eyingirira omukyala ono.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti Omukyala ono abadde ava kugemesa baana be mu ddwaliro emotoka n’emwambala.

Atwala poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Lwengo Fredrick Wasswa akabenje kano akatadde ku ndiima na kibama n’ategeeza ng’omuyiggo gwa dereeva asse abantu bwegutandise

Leave a comment

0.0/5