Paapa Francis akubirizza abavubuka okugoberera obuwangwa bwabwe wamu n’okussa ekitiibwa mu kgambo kya mukama okuleetawo embeera ennungi mu bitundu byabwe.
Nga akulembeddemu ekitambiro ky’emisa amakya galeero mu ggwanga lya Kenya, paapa ategezezza nga abantu be Kenya bwebasanye okwesunako olw’obulamu obulungi bwebalina mu famile zaabwe.
Paapa agambye ekitundu kyonna okubeera obulungi kitandikira ku famile eenungi kale amaka gasanye okutekebwamu ekitiibwa.
Paapa agambye Katonda ayogera nyo ku byokwewala ebigambo ebiyuzayuzamu amaka kale nga n’abantu basanye okubyewalira ddala.
Paapa Francis ategezezza nga eddiini bwekola ekyamanyi enyo mu kutendeka abavubuka okussa ekitiibwa mu mbeera zobuntu mu kifo ky’okululunkanira ebyensi n’obuyinza.
Omulangira w’ekeleziya era alabudde nga Katonda bwali ow’eddembe kale nga erinya lye terisanye kukozesebwa mu bikolwa by’efujjo n’alabula abavubuka abayingizibwa mu bikolwa by’ekitujju.
Ye kalidinaali John Njule yebaziza nyo Paapa olwokulondawo okujja mu ggwanga lya Kenya era n’atendereza nyo bannakenya engeri gyebanirizzamu Paapa neyebaza n’omukulembeze w’eggwanga olw’obuyambi bw’awadde ekeleziya.
Emissa eno yetabiddwamu abakulembez okuva mu gavumenti ya Kenya nga bakulembeddwamu omukulembeze w’eggwanga Uhuru Kenyatta.
