Skip to content Skip to footer

Omukazi ayokerezza omwanawe mu nyumba

fire guts house

Omukazi ayombye nebba nava mu mbeera nayokya enyumba yaabwe omufiiridde omwana wabwe ow’emyeezi 3  ,sso nga basatu basigadde ku ssaala olw’ebisago ebyamaanyi byebafunye.

Bino bibadde e Kosovo Lungujja ku nkingizi z’ekibuga Kampala ku ssaawa nga  munaana nga busaasana .

Aduumira poliisi ya  Old Kampala Joram Mwesigye agamba omukazi ono, bba, n’omwana wabwe omulala bbo batwaliddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka.

Amanya ga bano bonna teganategerekeka

Leave a comment

0.0/5