Skip to content Skip to footer

OKukyala kwa Paapa kwakutumbula obuwanguzi- Museveni

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono
File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono

omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga okukyala kwa paapa bwekugenda okutumbula enyo eby’obulambuzi mu ggwanga.

Nga ayogerera mu lukungaana lwabannamawulire olwaleero, pulezidenti Museveno ategezezza nga okukyala kwa paapa kuno bwekutunze nyo Uganda eri bamusiga nsimbi bangi kale nga bakweyiwa mu ggwanga okuleetawo enkulakulana.

Pulezidenti Museveni wakusooka okuyimiriza kampeyini ze okwaniriza paapa olunaku lwenkya ategezezza nga okuggya kwa paapa bwekuli okwesiima eri bannayuganda.

Mu lukungaana lwelumu pulezidenti Museveni alabudde munnakisinde kya Go-Forward Amama Mbabazi  okwewala okumenya amateeka nga agenda ayogera ebyama bya gavumenti.

Museveni agamba nti yadde nga tatidde kintu kyonna, Mbabazi aggya kuba amenye amateeka g’obukulembeze nga agenda ayasa ebyama bya gavumenti.

 

Gyebuvuddeko Mbabazi yatiisizza okwasa ebyama singa gavumenti teleketawo kutataganya nkungaana ze.

Leave a comment

0.0/5