
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr. Kiiza Besigye ategezezza nga bw’alina essaala emu eri paapa ayogereko ne pulezidenti Museveni aweeyo obuyinza mu mirembe.
Nga ayogerako nebannamawulire mu makage e Kasangati, Besigye ategezezza nga okukyala kwa paapa bweguli omukisa ogw’enjawulo eri bannayuganda naddala mu biseera bino eby’okunonya akalulu.
Mungeri yeemu Dr. Besigye atabuklidde akakiiko k’ebyokulonda olwokumuyita omumenyi w’amateeka n’ategeeza nti bave mu byokwogera bamuvunane oba byebamuvunaana birimu ensa.
Besigye olwaleero ayolekera bitundu bye Mukono gy’agenda okukuba enkungaana ez’enjawulo.
Besigye era asiimye obuwagizi bannayuganda bwebamulaze mu nkungaana zonna zazze akuba.
Besigye agamba klungi nti bannayuganda bagenda bategeera enjri ye ey’enkyukakyuka kale nga kino kimuzizzamu amaayi.
Nga ali ku mabbali ga Besigye, amyuka sipiika wa disitulikiti ye Bukomansimbi Salaama Nakandi naye asaze eddiiro okuva mu kibiina kya NRM n’alangirira nga bw’agenda okwesimbawo ku kifo ky’omubaka omukyala mu disitulikiti eno ku tikiti ya FDC.