Amawulire
Bannamateeka batandise kawefube owókusomesa obukulu bwékiraamo
Bya Mike Sebalu,
Ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kitandise okumanyisa abantu ku bulungi obuli mu kuwandiika ekiraamo.
Bino byogeddwa Bernard Oundo, pulezidenti w’ekibiina kino bwabadde ayogerera ku bikujjuko by’olunaku lwa probono olw’omulundi ogwa 14 olukuzibwa ku kibangirizi kya Railway mu Kampala.
Agamba nti ebibalo mu kkooti y’amaka biraga nti emisango egisinga gyekuusa ku butakkaanya mu maka obukwata ku kugabana ebintu nga bannannyini bintu tebaleka biramo.
Olunaku luno lukuzibwa wansi womulamwa ogugamba nti okutegeera emitendera egyokusikira ebintu okwewala okusika omuguwa.