KAMPALA
Bya Damalie Mukhaye
Akulira emirimu gyekikugu mu Kampala, Jenipher Musisi atuuse ku kukukaanya nomugagga Hamis Kiguddu alina okukulakulanya ekibangirizi kya Park Yard, okuliyirira abasubuzi mu kaseera kano abakolera ku kizimbe kye.
Bwabadde ayogerera mu lukiiko, olutudde ku Cityu Hall mu Kampala mukyala Musisi ategezezza nti kyandiridde abasbuzi abagobwa okwekubira ebduulu mu wofiisi ye nga bwebakolera mu mbeera embi.
Kati ategezezza nti bakanyizza ne Ham okuwaayo obukadde 100 eri absubuzi abali mu 1000 abkolera awo ku kizimbe kya Ham, mungeri yokubaliyirira.
Kati ensimbi zino zakudda mu banka yabasubuzi eyobwegassi basobole okwewola bongere okwekulakulanya.
Wabula kiisimbiddwako amannyo nti ensimbi zino zaabo bokka abasubuzi abakolera ku kizmbe kya Ham shopping mall kalenga abali mu katale ka USAFI tebageza nebayingirira entekateeka eno.