Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwa pulezidenti DR Kiiza Besigye aguddwako emisango gy’okujeemera ebiragiro bya poliisi wali mu kkooti ye Kasangati.
Obujulizi bulaga nti Besigye ono yetaba mu kanyoolagano ne police wali ku nkulungo ye Mulago poliisi bweyamukwata nemuggalira ku poliisi ne Naggalama.
Emisango gyonna Besigye agyeganye era neyeyimirirwa ssentebe we gombolola ye Nangabo Tonny Kiyimba Ssempebwa n’omukunzi mu kibiina kya FDC Ingrid Turinawe ku bukadde 2 ezitali zabuliwo.