
Poliisi ye Tororo ekutte ba ssentebe b’abavubuka 12 lwakulemererwa kusasula nsimbi z’abavubuka ezabaweebwa okwekulakulanya.
Omubaka wa pulezidenti e Tororo Martin Orochi y’alagidde poliisi okukwata ba ssentebe b’ebibinja by’abavubuka bano abaganyulwa mu ssente zino wabula nebalemererwa okuzizzaayo.
Kinajukirwa nti ku bibiina by’abavubuka 76 ebyatwala obukadde obusukka mu 600, ebibiina 46 byebibadde byakazaayo ssente zino sso nga waliwo ebibiina ebirala ebyagala okwewola
Orochi agamba mu kikwekweto ekyatandika nga 6 April basobodde okuzza obukadde mukaage n’ekitundu sso nga abantu 12 bebakakwatibwa.
Akulira abavubuka ku disitulikiti eno Lydia Amoit ategezezza nga minisitule y’ekikula ky’abantu bwebataddeko akazito okuzza ensimbi zino kubanga ebibiina ebirala 30 bizilindiridde nabyo okuzewola bekulakulanye.