Skip to content Skip to footer

Ssabasajja atukizza ebya Federo

Kabaka on birthdaySsabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda mutebi11 azeemu natukizza ekyokuzza enfuga  eya Fedro mu Buganda, nga agamba nti eno yeyokka egenda okuzza Buganda kuntiko.

Omutanda okwogera bino abadde ku kasozi Buddo , kumikolo egy’okukuza amazaalibwa gomutanda ag’e 61 egybuto.

Omutanda agambye nti abazadde ba buganda bwanga Bajukire okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe mukulabirira abaana baabwe naddala abali nkola eya Bonna basome.

Bino byona nga tebinabawo Katikiro wa  wa Buganda Charlese peter Mayega  asiimye obuganda olw’okuwaayo obudde okubugiriza omukolo ogw’amazaalibwa.

Katikiro kumukolo guno kwategereza nga ssabasajja bwasiimye  omuyimbi omukukutivu mu gwanga  Mungeri yeemu Katikiro awongeredde obuganda mu mikon gya Katonda, kko ne ssabasajja kabaka .

 

Leave a comment

0.0/5