File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Tororo ekutte ba ssentebe b’abavubuka 12 lwakulemererwa kusasula nsimbi z’abavubuka ezabaweebwa okwekulakulanya.
Omubaka wa pulezidenti e Tororo Martin Orochi y’alagidde poliisi okukwata ba ssentebe b’ebibinja by’abavubuka bano abaganyulwa mu ssente zino wabula nebalemererwa okuzizzaayo.
Kinajukirwa nti ku bibiina by’abavubuka 76 ebyatwala obukadde obusukka mu 600, ebibiina 46 byebibadde byakazaayo ssente…
