Amawulire
Gavt yeyamye okwongera okuwagira omwana owóbuwala
Bya Barbara Anyait,
Gavumenti yeyamye okwongera okussa ssente mu pulojekiti z’ebyenjigiriza ezigendereddwamu okutumbula abaana abawala n’okubawa emikisa gy’okuyigirizibwa emirimu gyo mitwe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’omwana omuwala mu nsi yonna, minisita w’eggwanga ow’ensonga z’abavubuka n’abaana Sarah Mateke akubiriza abakyala abafuuse ekyokulabirako ekirungi mu bitundu byabwe okubuulirira abaana abawala mu bintu ebyenjawulo nga babatuusako amagezi aganabayamba mu maaso.
Olunaku lwomwana owobuwala olwensi yonna lukuzibwa buli nga 11 October ne kigendererwa ekyokutumbula eddembe lyomwana owobuwala.
Olunaku luno lukuzibwa wansi womulamwa ogugamba nti “tumanyise eddembe lyomwana omuwala, obukulembeze nóbulamu obulungi