Ebyobulamu
Abe Mulago bayitiddwa mu kkooti
Kooti enkulu e Mulago eragidde abaddukanya eddwaliro lye Mulago okwewozaako mu musnago ogwawaabwa abazadde ababbibwaako omwana.
Omwana ayogerwaako kigambibwa okuba nga yazaalibwa ne mulongo munne kyokka n’abula era abasawo e Mulago nebategeeza bakadde be nti yali afudde
Ekyewunyisa abazadde bano kwekulaba ng’ate ku kipande kyebafuna tekyeyoleka nti omwana yafa
Bazadde b’omwana ono okuli Michael Mubangizi ne Jennifer Musimenta bayita mu kibiina kya center for Health, Human Rights and Development.
Bano yadde omwana waabwe babategeeza nga bweyali afudde tebabaweerawo mulambo okutuusa lwewayitawo ennaku ssatu era okwekebeza ng’omwana ssi waabwe
Omulamuzi abazadde abawadde amagezi okuteesa n’abe mulago nti kyokka ssinga kigaana omusnago gwakutandika okuwulirwa nga 26 omwezi gw’okusatu