Amawulire
Poliisi eyodde 40
Poliisi ye Nansana ezinzeko abateberezebwa okubeera abazzi b’emisango 40.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro ekikesezza olwaleero mu bitundu nga Kibolooka, Yesu Amala , Nabweru n’ebitundu ebirala.
Akulira poliisi ye Nansana , Mohammed Kirumira agambye basobodde okuzuula ebikozesebwa mu bunyazi okuli amajambiya, obutayimbwa n’ebisumuluzo ebijingirire ebikozesebwa okugula amayumba g’abantu.
Bano bonna mukaseera kano batwaliddwa mu kooti ye Nabweru okuggulwako emisango gyobunyazi