
Minisita akola ku nsonga za ssemateeka Gen Kahinda Otafire awakanyizza ebigambibwa nti yayabulidde ekibiina kya NRM.
Otafire bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, agambye nti yasalawo okwesimbawo ku lulwe oluvanyuma lw’ekibiina kye obutawuliriza kwemulugunya kyokka nga tekitegeeza nti yava mu NRM.
Agambye nti akyakkiririza mu kibiina n’ebigendererwa byaakyo era wakusigala ng’akiwagira
Kyokka agambye nti ensonga ze ezemulugunya ku kakiko k’ekibiina akalondesa zikyaaliwo era tajja kuweera okutuuka nga zaanukuddwa
Otafiire yasalawo okwesimbawo nga tasinzidde mu NRM oluvanyuma lw’okuwangulwa Capt Ruhonda Magulu mu kamyufu ka NRM.