Skip to content Skip to footer

KCCA ekutte 30 nebasindikibwa e Luzira.

Bya Ruth Anderah.

Abakwasisa amateeka aba KCCA batandise okuyoola abantu bebatebereze okwetaba mukubba obusawo bwabakyala, kko nebintu ebirara.

Kati leero waliwo abantu 30 abakwatiddwa era nebasimbimbwa mu kooti ya KCCA okukakana nga basindikiddwa e Luzira ku misango omuli okusika obusawo, okufuuweta sigala mulujudde, okunywa enjaga kko n’ebirara

Bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya KCCA Patrick Talisuna nabasomera emisango gino, kyoka nebagyegana.

Kati bano omulamuzi alagidde batwalibwe e Luzira  okutuusa mu December 3rd 2018 bwebanakomawo mu kooti yeemu.

 

 

Leave a comment

0.0/5