Skip to content Skip to footer

Abalenga akaboozi bakwatidwa lwakweyambira ku kubo.

By Ruth Anderah

Waliwo abakyala abalenga akaboozi mwenda abakwatiddwa, era nebasindikibwa e luzira nga bano balangibwa  kusangibwa nga beyambira ku nguudo za Kampala

Bano nga bakulembedwamu Harriet Akini balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Patrick Talisuna nebakiriza emisango gino era omulamuzi nabasindika e Luzira okutuusa nga 21st Nivember.

Obujulizi obuleteddwa bulaga nga bano mu November 15th 2018 bwebasangibwa e kiro nga bali mu kwerenga, kyoka nga bwebamala ku makubo kwebafuula kaabuyonjo.

Leave a comment

0.0/5