Bya Samuel Ssebuliba.
Police eduukirira ebigwa tebiraze wetwogerera nga egadde oluguudo olugatta ku Kasawo ku Zirobwe wano e Mukono nga wano weewali omugga ogumanyiddwa nga Rwajjaari ogwabooze negugala ekubo.
Aduumira police eno Joseph Mugisa agamba nti olunaku lweggulo waliwo abantu abaabade ku pikipiki nebagezaako okuyita mu mazzi gano okukakana nga gabatutte ne bodaboda zaabwe.
Ono agamba nti akawungezi baasobodde okutaasako 2, wabula nga waliwo okusuubira nti abamu bakyali mu mazzi, kale nga kaweefube w’okubayigga yagenda mu maaso kati.