
Ab’ekibiina ekivunanabyizibwa ku kugema endwadde ezenjawulo ekya Global Alliance for Vaccines and Immunization kyenyamidde ku ngeri ensimbi zekyawereza e Kasese okugema endwadde ezenjawulo gyezikwatiddwamu.
Ekibiina kino kigamba ensimbi nyingi ziri ku akawunti za disitulikiti zifa ttulo sso nga abantu siriimu akyabaluma, omusujja gw’ensiri gubali bubi nga kwogasse n’akafuba.
Okunonyereza okwakoleddwa gyebuvuddeko kwakizudde nga siriimu bw’akyali omungi ku bizinga nga eno abantu abakwatibwa obulwadde buno bali 40% sso nga mu ggwanga lyonna bali 7.3%.
Okunonyereza kuno era kulaze nga amalwaliro agali ku mutendera gwa health center II bwegatakkirizibwa kujanjaba siriimu, omusujja gw’ensiri n’akafuba sso nga gali kumpi n’abantu.
Omukwanaganya w’ekibiina kino Prof Vinand Natulya nga era y’omu ku batuula ku lukiiko olutwala ekibiina kya Global Fund era ategezezza nga abantu obuteyunira nkola ya kizaala ggumba bwekiviriddeko abantu bangi okuzaala abaana bebatasobola kulabirira.