Abayisiraamu basabiddwa okutwala okusaala Tarawuya ng’ekikulu
Abayisiraamu bangi olumala okusiibulukuka nga kiwedde era bangi nga beebaka
Imam w’omuzikiti gwa kampala mukadde Sheikh Imran Ssali agamba nti tarawuya erimu ebyengera bingi era abantu tebasaanye kugisubwa.
Anyonyodde nti yadde okusaala kuno kutera okubeera mu mizikiti, omuntu yenna asobola okusaalira ewaka
Tarawuya esaalibwa ng’okusaala Isha kuwedde era nga ya laaka 11.