Poliisi mu disitulikiti ye Dokolo eriko omukyala gw’ekutte, ng’ono emulanga kuwutula mwami we n’amutta
Omukwate ategerekese nga Agnes Awor omutuuze we Abanyo, nga ono yakkakkanye ku bba Davis Ogwal n’amutta era olwamaze n’amuwanika ku mulabba okulowoozesa abantu nti yabadde yeetuze
Ayogerera poliisi mu Uganda Fred Enanga atubuulide nti oluvanyuma lw’okwekengera enfa y’omusajja ono omukyala bamukutte, era nga agenda kwongera okunonyerezebwako ku misango gy’obutemu .