Tewali bwetaavu bwakukyusa bukulembeze mu kibiina kya NRM.
Atwala abavubuka mu kibiina kino Denis Namara agamba nti okukyuusa okuva ku pulezidenti Museveni okudda ku Mbabazi tekikola makulu kubanga bonna bakadde nga n’eneeyisa yeemu
Namara ategeezezza nmga bwemaze okuwandiikira akakiiko akakwasisa empisa okunonyereza ku neeyisa ya Mbabazi ennaku zino ng’atuuse n’okukuta n’abavuganya.
Alabudde abavubuka okwewala okukozesebwa abeenonyeza ebyaabwe mbu basimba mabega wa Mbabazi.