
Gavumenti yakuno yakuteeka obukadde bwa doola 36 mu kukola emmotoka okusuubirwa okutandika mu 2018.
Ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda agamba mu nteekateeka eno emmotoka 60,000 zakukolebwa buli mwaka nga buli emu yakusasanyizibwaako doola za Amerika 25,000 .
Ategezezza nga gavumenti bweyawaddeyo dda yiika z’ettaka 100 mu tawuni ye Jinja mu bitundu bye Kakira.
Ssabaminisita ategezezza nga eggwanga bweliggya okufunamu amagoba gabuwumbi bwa siringi za Uganda nga mukaaga n’ekitundu nga emmotoka zino zimaze okutundibwa.
Gavumenti yakuno yakukwatagana ne kampuni ezikola emmotoka 4 okuli eya RLE International okuva mu Amerika okusobola okutukiriza kino.