
Alipoota efulumiziddwa ekibiina kya Amnesty International eraga nti poliisi ekyakwata kisooka mu kulinyirira eddembe ly’abantu.
Alipoota eno evuddemu mu kunonyereza ku nsonga y’abantu okukungaana naddala mu biseera bino eby’akalulu.
Okunonyereza kwaakolebwa wakati w’omwezi gw’omwenda n’ogwe kkumi n’ogumu era nga kyeyoleka nti poliisi yakozesa nnyo ttiyagaasi n’amasasi g’ebipiira okulemesa abavuganya okukungaana.
Mu ngeri yeemu era poliisi bagirumirizza okuvunuula amateeka ekifuula nnenge n‘ekigendererwa ky’okulemesa abavuganya.
Amyuka akulira ekibiina kino mu Uganda Sarah Jackson asabye ab’obuyinza bonna bekikwatako okufuba okulaba nti eddembe lissibwaamu ekitiibwa mu buli kikolebwa
Yye omulwanirizi w’eddembe kayingo Irene Ovongi Odida agambye nti kyenyamiza okulaba nti mu bbanga lino abakyala batyoboolwa nnyo n’ekigendererwa ky’okubalemesa ebyobufuzi.
Wabula bwetutuukiridde poliisi etegeezezza nti etegeka kiwandiiko ekyanuukula ku bino.