Skip to content Skip to footer

Owemyaka 10 basanze mufu mu mugga

Bya Abubaker Kirunda

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buwolomera A mu gombolola ye Nawaningi mu district ye Iganga, bwebagudde ku mulwmbo gwomwana omuwala owemyaka 10 mu kidiba.

Omugenzi ye Sofia Tikabula muwala wa Rashid Malingumu omutuuze ku kyalo kyekimu.

Kati ssentebbe we kyalo kino William Kasadha, agambye nti omwana ono abadde yabuze awaka, okumala essaawa wabula oluvnyuma bazudde mulambo.

Poliisi etegezzezza ngokunonyereza ku kiki ekyaviriddeko omwana ono okufa bwekugenda mu maaso.

Leave a comment

0.0/5