Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyentebereza y’obudde mu gwanga Uganda National metrological Centre, kinyonyodde ku musana pereketya ogwememula.
Bano omwezi oguwedde baali balagudde enkuba eyamaanyi mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo, okutandika n’omwezi guno ogwokutsattu, wabula musana gwegwaka.
Mu kiwandiiko ekivudde ewakulira ekitongole kino Festus Luboyera, amazzi gakyusiddwamu negatwalibwa ewalala okusinziira ku buttonde nenkyukkyuka yobudde.
Agambye nti omuyaga ogwabadde mu gwanga lya Mozambique, Madascar, Malawi nawalala mu maserengeta ga Africa, gwabadde gulina kubeera wano.
Agambye nti kwabadde kusaba kwa Katonda.