Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku mukazi owemyaka 40.
Omugenzi ye Ainomugisha Florence ngabadde mutuuze ku kyalo Matimba, mu gombolola ye Nyabubare mu district ye Busenyi.
Omugenzi kigambibwa nti yatiddwa omukuumi mu kitongole kyobwananayini ekya SWAT Mugisa Godfrey owemyaka 28, wabula aku nsonga etanategherekeka.
Omulambo gwomugenzi gusngiddwa mu kitaba kyomusaayi, emabega wolujji mu nyumba mwababdde asula, nga baamusaze obulago neku bibegabega.
Wabula abatuuze olutegede bino nebalumba, omusajja ono agambibwa okutta omukazi ono naye nebamukuba nebamutta.
Ayogerera poliisi mu bitundu bino, Tumisiime Marshal akaksizza nti okunonyerrza kugenda mu maaso.
Poliisi era etegezezza nga bwesobodde okufuna amajambiya, gebasanze mu bifo awabadde obutemu buno.