Bya Damalie Mukhaye
Akakiiko akatekebwawo okulwanyisa obuseegu mu gwanga kasse omukago nakakiiko akavunayizibwa ku byempuliziganya mu gwanga, aka Uganda communication commission okwongera okulabira ddala abalaba ebyobuseegu nokubisasanya, mu kawefube okubilwanyisa.
Bwabadde ataeeka omukono ku ndagaano eno wano mu Kampala, ssentebbe wakakiiko akawalnyisa obuseegu Annett Kezabu Kasimbazi agambye nti mu nkolagana eno ne UCC, baakusobola okulaba ebikolwa abyonna wonna webiri, ngbudde bukyali.
Yye ssenkulu wa UCC Godfrey Mutabaazi alaze obumalirivu, era nakaksa nti bewaddeyo okuwereeza mu nkolagana eno.