Bya Ruth Anderah.
Waliwo abantu mwenda ababade abavunaanibwa emisango gy’okugezaako okuwamba government nga balumba enkambi y’amajje e Kabamba kyadaaki bayimbuddwa kooti y’amajje ekulirwa Lt.Gen. Andrew Gutti.
Munsalaye , omulamuzu Gutti yagambye nti tebayinza kugenda mu maaso na musango guno, songa abavunaanwa baafunye ekisonyiwo okuva mu amnesty Commission gyebaagenda nebeenenya byebaakola.
Abateereddwa kuliko Nassim Namuzimule, Marvin Ssemwogerere, Sgt Ndugga Musaazi, Ali Mukiibi, Lumala Salongo, n’abalala
Obujulizi obubaddewo bulaga nga bano mu May 2013 mu bitundu okwali Kampala, Wakiso, Masaka, Luweero ne Nairobi Kenya, bwebeetaba mukuwandiika abantu abaali bagenda okulumba enkambi ye kabamba esangibwa wano e Mubende.