Bya Samuel Ssebuliba.
Agava mu team ya Manchester United galaga nga musajja mukulu Jose Mourinho bwagobeddwa ku kifo ky’obutendesi bwa team eno kwabadde yakamala emyaka ebiri n’ekitundu.
Ono egenze okugenda nga team gyatendeka ekwata kifo kya mukaaga mu Premier League, n’obubonero 19 wansi wa team nga Liverpool,eyabakubye goal 3-1 ku Sunday.
Kati getwakasembayo okufuna galaga nga bwewagenda okulondebwawo omutendesi agenda okugira nga adukanya team eno okutuusa nga season eno ewedde.