Bya Ben Jumbe.
Akakiiko kebyokulonda kasabye bannayuganda okukwatagana nako k’ebyokulonda okulaba nga entekateeka yonna tebaamu birumira.
Kinajukirwa nti akakiiko kano sabiiti ewedde kafulumya entekateeka enaagobererwa mu kulonda kwa 2020/2021, nga eno eraga nga okulonda kwenyini bwekunabaawo nga 9 February 2021.
Twogedeko ne sentebe w’akakiiko kano Justice Simon Byabakama naagamba nti enjawukana ezijja n’okulonda, kko nokulwanagana okutera okubaawo ku mulundi guno kugwana kwewalwe, wabula nga bino byonna binaatukibwako singa buli gw’ekikwatako aneenyigira mukulonda kuno.
Ono agamba nti kaweefube akakiiko kano gwekaliko waakulaba nga enkola y’okulwanira mu kulonda ekyuka.