Amawulire

Babiri bafudde- Namatovu ne Lutaaya bagattiddwa

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

Namatovu Lutaaya wed

Abantu 2 ababadde bava ku kasiki k’omuyimbi Geofrey Lutaaya bagudde ku kabenje e Kakuuto mu district ye Rakai nebafiirawo.

Bano babadde batambulira ku piki piki era nga batomedwa Taxi ebadde ewenyuuka obuweewo.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti ababiri abafudde babadde ku pikipiki edduka emizibu nga bano abawabyeeko n’asooka ekoona owa kagaali omulala nga tennakoona taxi.

Abalumizidddwa batwaliddwa mu ddwaliro e Kalisiizo.

Bbo abayimbi Irene Namatovu ne Geofrey Lutaaya bafuuse omu oluvanyuma lw’okugattibwa ku mbaga makenke ebadde e Miti ebiri.