Amawulire
Mukomye okwebaka obwebasi-Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asoomozezza abasoga okukoma okwebaka obwebasi , ng’emikisa gy’enkulakulana gibayitako.
Pulezident okwogera bino abadde ku kitebe kya disitulikiti ye Mayuge, ku mikolo egy’okukuza ameenunula ga Yuganda, ag’omulundi ogw’a 28.
Pulezidenti agambye nti waliwo enkulakulana nyingi z’asindikidde abantu mu buvanjuba bw’eggwanga , wabula nga zonna zifa togge.
Okusinga olunwe alusonze mu bakulira enkola ya NAADS mu disitulikiti eno , bagambye nti bali mu kwebaka.
Olwaleero lwegiwezze emyaka 28 bukyanga amaggye ga NRA gawamba buyinza mu mwaka 1986 .