Skip to content Skip to footer

Aba DP Mbabazi abawuuba

File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao
File Photo: Presidenti wa DP Nobert Mao

Bannamateeka b’ekibiina kya  Democratic Party bali mu nteekateeka ezisembayo ez’okubaga ekiwandiiko ekinatekebwako emikono ku nkolagana yaabwe n’egwebagenda okuwagira ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi.

Ekibiina kya DP kyalangirira nga bwekigenda okuwagira Mbabazi n’ekiwayi kye ekya Go Forward nga kati basaka buwagizi kuva mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu.

Ssenkaggale w’ekibiina kino  Nobert Mao mukakafu nti wiiki eno emikono gyakutekebwa ku kiwandiiko kino ku ngeri gyebagenda okunonya akalulu wamu n’engeri gyebanakolaganamu singa bawangula obuyinza mu 2016.

Mao era ategezezza nga aba Mbabazi n’ekiwayi kye ekya Go Forward bwebakkiriza okuwagira abesimbyewo ku tikiti ye Dp mu bitundu bya Buganda.

Leave a comment

0.0/5