
Omuwanika w’ekibiina kya NRM Rose Namayanja Nsereko agudde ku kabenje wali e Kigogwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Nakaseke.
Okusinziira kw’omu ku boogezi ba NRM Rogers Mulindwa, Namayanja mu kadde kano aweereddwa e kitanda mu ddwaliro lye Nakasero
Ono abadde wamu n’omukuumi we Richard Kyazze, maama we Catherine Namirembene dereeva we Isma Ssebunya nga bonna bali ku kitanda.
Mulindwa agamba nti Namayanja abadde agenda Kasangombe mu disitulikiti ye Nakaseke okwetaba ku mikolo gy’okutema evuunike ly’okuzimba eddwaliro mu kitundu kino.
Abasawo kati bakola kyonna ekisobola okutaasa obulamu bw’abakoseddwa mu kabenje