Amawulire

Pulezident Museveni akyalemeddeko ku kweyimirirwa

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

m7 at celebrations

Pulezidenti Museveni akyasibidde weyali ku nsonga z’okweyimirira abantu.

Ng’aggulawo olukungaana lw’abalamuzi olw’ennaku ettaano, pulezidenti agambye nti okweyimirira abantu abazizza ogw anaggomola kuba kucokooza bantu

Asonze ku misango nga ettemu, okusobya ku baana abatannaba kwetuuka kko n’okulya mu nsi olukwe ng’agamba nti emisango gino minene  nnyo .

Ono era yeewunyizza lwaki Dr Kiiza Besigye akyayimbulwa ate nga teyeddako mu kuzza misango

Ku ky’okwongeza abalamuzi emisaala, pulezidenti Museveni teyetemye kintu kyonna

Olukiiko lw’abalamuzi lutambulira ku mulamwa okuzzaamu abantu essuubi nti basobola okufuna obwenkanya mu kitongole ekiramuzi