Amawulire
Obumu geemanyi- Kabaka
Ssabasajja kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri agamba nti ekituusizza Buganda ku buwanguzi e Kayunga bubadde bumu.
Omutanda era agamba nti n’abantu benyini bamanyi kyebagala.
Bino maaso moogi abyogeredde ku gombolola ye Bbale nga akomekkereza emikolo gy’olunaku lwe olusoose e Bugerere.
Omutanda agambye nti Buganda eyise mu bingi okuva mu mwaka gwa 2009 kyokka nga kirungi nti abantu basigadde bumu.
Mu ngeri yeemu era omutanda akunze abazadde obuterabira kuweerera baana baabwe olwo ekibira lwekinaggumira
Ng’ayogerera mu kifo kyekimu, Kamala byonna Charles Peter Mayiga akunze abantu okukola ennyo.
Okwogera kw’omutanda kwekufundikidde olunaku olusoose olw’okulambula kwe nga wano ate enkya w’anatandikira
Kinnajjukirwa nti okukyala kuno kwa byafaayo olw’ensonga nti omutanda lweyakoma okugezaako okulambula essaza lye gavumenti ya kigaana era mu kwekalakaasa okwaddirira, abantu 30 beebalusuulamua akaba.