Amawulire
Ssabasajja aboggodde- Bugerere ya Buganda
Ssabasajja Kabaka Ronald Mutebi ssabawanguzi alabude abo abazannyira ku nsalo za Buganda n’addamu okukakasa nti Bugerere ssaza lya Buganda
Omutanda okulabula akukoze afundikira okulambula kwe ow’essaza lino okumaze ennaku 3
Agambye nti ekya Bugerere okubeeramu abantu ab’amawanga agatali gamu tekitegeeza nti tekyaali ya Buganda.
Ono ku nsonga z’obwavu naddala mu bavubuka,asabye bantu abeekolamu ebibiina okubikozesa okwetandikirawo emirimu.
Yye kamalabyonna Charles peter Mayigga ategeezezza nti okulemesa omutanda okutambulira mu ssaza lye e Bugerere kirinda kugaana musajja kwetayayiiza mu kisenge kye.
Asaasidde aboa bafiirwaako abantu baabwe mu 2009 kyokka n’abasaba obutakozesa kino kwekubagiza wabula bakikozesa okugenda mu maaso nga beekulakulanya
Ku mukolo gwegumu, omutaka we Bugerere, Nayonjo Stephen Kayemba lw’atuuziddwa nga kati yakulira abantu be Bugerere.