Skip to content Skip to footer

Abanaakola emikolo ku kabaka bamaze okusunsulwa.

Bya Samuel Ssebuliba.

 

Olukiiiko olutekateeka  omukolo gw’amatikira ga ssabasajja kabaka aga Jubileo lulabudde abantu abalina okubaako emikolo gyebakola ku kabaka wabula nga tebaayitiddwa obutageza kwesukulumya.

Bwabadde ayanja entekateeka zino, Owek, Hajji Twaha Kawaase agambye nti  ebika nga ab’obutiko abazina amazina amagunju nab’embogo abakongojja kabaka baamazedda okusunsulamu abagenda okukola emikolo gino, kale nga abaayitiddwa tebagwana kwesusukulumya.

Ono agamba nti okwewala okukubagana empawa, abanaakola omukolo guno bonna batendekeddwa, era nga  bagenda kuba bateketeeke bulungi.

 

Leave a comment

0.0/5