Poliisi mu disitulikiti ye Masaka eriko abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi bekutte nga bavunanibwa kutimba n’okusasanya ebipande bya Mbabazi .
Bano era basangiddwa nga bambadde emijoozi okuli ekifananayi kya Mbabazi nga era bagaba obupapula okuli erinya lye.
Omwogezi wa poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Noah Sserunjogi agamba bano bakwatiddwa mu tawuni ye Nyendo.
Abakwate abamenye nga Charles Muleefu, Jamiru Jjingo ne Joseph Ssekasanvu nga bonna bavuzi ba bodaboda.
Sserunjogi ategezezza nga abavuzi ba bodaboda bano bwebaapangisiddwa okubunyisa ebipande bya Mbabazi.
Serunjogi agamba bakyebuuza ku babasingako okulaba emisango gy’okubaggulako.