Amawulire
Abalala balumirizza omusawo
Abantu abalala babiri olwaleero bongedde okulumiriza omusawo agambibwa okukuba omwana empiso n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya.
Olwaleero Mariam Sayuuni nga musirikale e wandegeya ategeezezza ng’omusawo ono RoseMary Namubiru bweyamutegeeza nti akikoze mu butali bugenderevu yadde nga teyegaana kusiiga mwana ono obulwadde
Omusirikale ono agambye nti omusawo yamugamba nti yali akooye eta nga n’enjala emuluma kale obutetawaanya n’akozesa empiso ye ku mwana gweyali akolako
Omujulizi omulala abadde Daniel Kalibbala agambye nti alina ebiwandiiko ebiraga nti Namubiru mulwadde
Namubiru nga musawo ku kalwaliro ka Victoria Medical Center agambibwa okukuba omwana empiso gyeyali akozesezzaako n’ekigendererwa ky’okumusiiga obulwadde bwa mukenenya