Amawulire
Ebiri mu buduukulu bwa poliisi byewunyisa
Ebiri mu kaduukulu ka poliisi ku CPS mu kampala byewunyisa.
Lino yadde kkomera naye waliyo abaloodi n’abaavu.
Obadde okimanyi nti ba ofiisa ba poliisi baling bakatonda nga beebasalawo wa w’osula.
Wano ekikweyimirira nsimbi zo.
Kati nno aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi akyaddeko mu kaduukulu kano mu ngeri ey’ekibwatuukira naye by’asanzeeyo naye asigadde anyeenya mutwe
Ba ofiisa ssente bazirya kyeere okuva mu basibe ate nga waliyo n’omu ku basibe abaloodi amaze ssabbiiti ssatu mu kaduukulu kyokka ng’eno omuntu talina kusussa nnaku 2 nga gyali
Kaweesi kati alagidde nti wabeewo okunonyereza okwa mangu okumanya ani ali emabega w’emivuyo gino era nga kino kigenda kubaawo mu buduukulu bwa poliisi bwonna.