Ebyobusuubuzi

Alipoota ku paaka yaadi ziriwa

Ali Mivule

March 5th, 2014

No comments

Park yard market

Eklezia Katolika egasse eddoboozi ku basaba nti alipoota ezizze zikolebwa ku muliro gw’omu paaka yaadi zifulumizibwe.

Akatale kano kaddamu okukwata omuliro ku nkomerero y’omwaka oguwedde.

Ssabasumba Cyprian Kizito Lwanga olwaleero alambuddeko abantu bano era nga bino gy’abyogeredde.

Ono wabula asabye abasuubuzi okusigala nga bakkakkamu kubanga akavuyo tekalya era ng’eno gy’avudde n’agenda okusiiga abakkiriza evvu.

Bbo abasuubuzi b’omu katale kano basabiddwa obuteralikirira olw’ekizimbe ekizimbibwa okumpi n’ekisaawe e Nakivubo

Omu ku bannanyini kisaawe kino Hajjati Miminsa Kabanda agamba nti batemye bulungi ensalo nga teri Muntu yenna kuyingirira mulala.