Amawulire
Mugume Kijja kuggwa-Katikkiro mu Kampala.
Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agumizza abantu b’omu katale ka paakyaadi nti byonna bijja kuba bulungi
Ono agenze okukimayo ettofaali ly’amasiro agambye nti mu bulamu buno mulimu okugezesebwa kyokka ng’obuvumu ky’eky’okuddamu eri ekizibu kino.
Katikkiro era abagaanye okutitiira olw’omuliro oguzzenga gusaanyaawo akatale kaabwe enfunda eziwera bagume bongere kukola.
Ono abategezezza nga mu mulembe guno omutebi eby’okwekubagiza bwebitakola kale nga kukola n’amanyi kwekujja okukulakulanya eggwanga.
Zzo ensimbi ezisoba mu bukadde 10 zezibadde zakasondebwa nga era ebikumin’ebikumi byabantu bakyeyiwa mu katale kano okwongera okusonda ettofaali.
Katikiro ali mu kawefube w’okusonda ettofaali mu kibuga wakati nga asookedde mu paaka yaadi, ayolekere akatale ka St.Balikuddembe , Kikuubo akomekereza e Nakivubo.