Amawulire

Okusunsula abagenda mu siniya 5- amasomero gassizza obubonero

Ali Mivule

March 6th, 2014

No comments

senior six begin

Amasomero agasinga gasizza obubonero abayizi ba siniya eyokutaano kwebagenda okuyingirira .Mengo senior Secondary School abalenzi ebatwalidde ku bubonero  21 ate abawala 18 .

Ndejje Senior secondary school  20 eri abalenzi, 22 ku bawala.

Gombe senior secondary ekomye ku  21 abalenzi ate 24 abawala.

Masaka Secondary school abalenzi etutte bafunye  38  nga abawala ekomye ku  42 .

Twogeddeko n’akulira essomero lya  Bweranyange girls, David Turyamusiima era ye eky’okussa obubonero akitadde ku bayizi kukola bubi omwaka oguwedde.

Mungeri yeemu alumgamya abayizi ku ssomero lya  Iganga Senior Secondary Robert Eremye musanyufu kubanga abayizi banji basazewo okutwala amasomo ga sayansi nawa amagezi abafuna obubonero obutono bagezeeko amassomo ga Arts.

Wabula amasomero amanene okusunsula kuno gakwebalamye nga era emeeza nyingi nkalu.

Ku gano kuliko  Gayaza high school, Makerere College, Trinity College Nabbingo, St Mary’s college Kisubi, Namilyango College, St Mary’s Namagunga , Kings College Buddo n’amalala.

Abamu ku bakulembera amassomero gano abasazewo obutatukirizibwa manya bagamba tebaliiwo kubanga abamu ku bazadde babakalubirira bwebagumba ku meeza zaabwe babawe ebifo by’abaana byabwe sso nga olukalala luba lujudde.