Amawulire
Mulekere awo okulinyirira abakyala
Pulezidenti agambye nti ekimu ku biremesa enkulakulana bwebutenkanya obuva ku bikula by’abantu ng’abakyala balekebwa emabega ng’ayogerera ku mukolo gy’okukuza olunaku lw’abakyala e Kumi, pulezidenti agambye nti n’okuva ewaka, abaana abawala balekebwa okukola emirimu egimu ng’abalenzi balera ngalo, ekintu ekirina okukoma.
Agambye nti era obuzibu buli ku basajja abalina okuyiga okukolaganamu n’abakyala abamanyi kyebaagala
Agambye nti kiba kirungi omusajja n’akwatagana ne mukyala we mu bynkulakulana n’awa eky’okulabirako kye ne mukyala we gw’agamba nti y’amukwatira ssente
Pulezidenti era agambye nti abakyala bamanyi okukwata ensimbi ate okusinga ku basajja kale ng’abasajja bandikozesezza bakyala baabwe okukulakulana.
Asiimye abakyala olw’okwerwanako okukola ennyo n’asuubiza nti gavumenti yakusigala ng’ebakwasizaako
Ku mukolo guno, abakyala 246 bawereddwa emidaali omuli egya zaabu ne Nalubaale olw’omulimu gwebakoze mu kutumbula eggwanga..
Ng’agaba emidaali gino, akulira akakiiko akagaba emidaali, Gen Elly Tumwine akuutidde abagifunye kugikuuma obulungi okulaba nti tebagibabbako oba okugisuula
Asaye n’abantu okussa ekitiibwa mu bantu abawereddwa emidaali kubanga bakola kya maanyi okuzimba eggwanga.