Amawulire
Aba NRM basisinkanye
Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM bakusisisnkana olw’eggulo lwaleero okwongera okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ekibiina.
Okusinziira ku amyuka nampala w’ekibiina kino , David Bahati ensisinkano eno yakulondoola ebyo ebyatesebwaako mu nsisinkano eyaliwo wiiki ewedde .
Bahati agamba kuluno bagenda kusinga kuteesa ku kulonda kwa bonna okwa 2016.
Wabula agamba nti endoolito mu kibina kyaabwe teziri kwebyo ebigenda okutesebwako.
Wiiki ewedde ssabaminista w’eggwanga Amama Mbabazi yali mu butala oluvanyuma lw’ebyafuluma nga obuyinza bwe nga ssabawandiisi w’ekibiina bwebwali bukendezeddwako saako n’ebigambibwa nti nti azze akola kakuyege w’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga mu bubba.
Mbabazi bino byonna abyegaana.