Ebyobulamu

Abatembeeya eddagala bubakeredde

Ali Mivule

March 10th, 2014

No comments

drug vendors

Ekitongole ekivunanyizibwa ku by’eddala mu ggwanga ekya National Drug Authority kakufuuza abatembeeya eddagala mu kibuga kamapala n’ebitundu ebirala.

Kino kiddiridde okwemulugunya nga bano bwebatunda eddagala eriyiseeko nga lyabulabe eri abalwadde.

Akulira ekitongole kino Gordon ssematiko agamba bazzenga balabula abantu bano wabula nga baling abafuuyira endiga omulele.

Agamba bano n’ebikapu mwebatundira eddagala bikyafu kale nga abalwadde bandisanye eddagala baligule mu malwaliro agalambikiddwa obulungi