Amawulire

Aba NRM batuula leero

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Mbabazi campaign

Abakungu mu kakiiko akafuzi mu kibiina kya NRM basisinkana leeromu maka ga pulezidenti Entebbe

AKakiiko kano ng’omulimu gwaako kulaba nti ekibiina kitambula bulungi bagenda kuteesa ku biseera by’ekibiina eby’omu maaso.

Ssabawandiisi wa NRM, Amama Mbabazi agamba nti bagenda kuteesa ku bukulembeze bw’ekibiina mu palamenti

Wabula ate ensonag ennekusifu zitutegeezezza nga bano bwebagenda okwogera ku njawukana mu kibiina nga Mbabazi y’ali ku muliro.

Ono wakunyonyola ebisingawo ku by’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga kko n’emirimu egikolebwa mukyala we Jackline Mbabazi n’eyali minisita Hope Mwesigye