Amawulire

Omukyala atemuddwa n’omwana we ku mugongo

Ali Mivule

March 13th, 2014

No comments

 woman weils

Ku kyaalo Kalongo e Kibalinga  Mubende, entiisa ebuutikidde abaayo oluvanyuma lw’abazigu abatanategerekeka okulumba omukyala abadde u kulima nebamuwamba n’oluvanyuma nemamutemako omutwe.

Bakalittima bano omukyala ono bamusazeko omutwe ng’ali n’omwana we ku mugongo, tebakomye awo n’omwana nebamusalako omutwe kyokka nga tabamusumuluddeeyo mu mugongo.

Omukyala attiddwa ategerekese nga Grace Nmakula wa myaka 26 ate ng’omwana we mwaka gumu n’ekitundu.

Bba w’omukyala ono ategeezezza nti bamuyise okuva mu ddwaliro e Mubende gy’abadde nga biwala ttaka era okutuuka ng’amaaso agakuba ku mukyala we n’omwana we nga bafu ba jjo.

Omusajja ono agamba nti emyaka 2 era bafiirwa muwala waabwe omukulu eyatemulwa era mu ngeri yeemu.

Omusajja ono agamba nti ali mu kutya kuanga abazigu bano bandiddira yye.